Skip to content Skip to footer

Paapa wakutuuka wano nga November aggwaako

pope laughinh

Ekitebe ekikulu ky’obukatoliki mu kibuga Vatican mu ggwanga lya Italy kikakasizza nga Papa Francis bw’agenda okukyala mu Uganda ne Central African Republic wakati wa 27- 29 omwezi gw’ekkumi n’ogumu.

Kino kizze nga wakayita wiiki emu bukya Papa akakasa nga bw’agenda okukyala wano mu Uganda bweyali mu lukungaana ly’abasumba okwetoloola ensi yona, olw’omulundi ogw’okusatu.

Pope Francis ajja okujaguza emyaka 50 bukya abajulizi ba Uganda battibwa ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga olw’eddiini, era mu kyo nebalangirirwa mu lubu  lw’abesiimi.

Papa nga tanajja mu Uganda, wakusooka mu ggwanga lya Bolivia ne Paraguary ate mu mwezi gw’omwenda akyale mu ggwanga lya Cuba ne America.

Leave a comment

0.0/5