Skip to content Skip to footer

Abasuubuzi ku bakondo

Sekitto

Abasuubuzi wansi w’ekibiina kyaabwe ekya KACIITA bakwataganye ne poliisi okulwanyisa ba kondo ababamazeeko emirembe

Omwogezi w’ekibiina kino Isa Ssekito agamba nti kawefube ono bagenda kumutandika nga 19 omwezi guno nga balambula ebyafuuka empuku z’ababbi nga kuno kwekuli  Kisenyi, Bwaise,Wandegeya ne Katanga.

Ogubatwalayo gwakusomesa bantu ku ngeri y’okulwanyisaamu obumenyi bw’amateeka.

Ssekito agamba nti ebibinja by’abazigu bano bikolera ku nguudo nga Luwum Street, Cooper Complex ne Kikuubo nga y’ensonga lwaki nayo bakutuukayo

Ssekito era agamba nti bagaala kusomesa basubuuzi ku ngeri y’okukuumamu emmaali yaabwe naddala wabaawo akavuyo mu kibuga

 

Leave a comment

0.0/5