Skip to content Skip to footer

Abatalina driving permit bubakeredde

Drving permit

Poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka etongozezza ekikwekweto ku bantu abavuga nga tebalina driving permit

Ekikwekweto kino kigendereddwaamu kukendeeza ku bubenje okuva ku ba dereeva abavugisa ekimama nga n’abandi tebalina bisanyiizo

Aduumira poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka, Norman Musinga agamba nti bategese okukwata ba dereeva bonna naddala abavuga emmotoka z’olukale abazza emisango nebasenguka nga bakutta permit zaabwe

Ekikwekweto kino kigenda kusookera mu kibuga kampala egenda okukola ng’eky’okulabirako eri ba dereeva abalala

Leave a comment

0.0/5