Skip to content Skip to footer

Abatuuze bakayanira kkubo n’omugagga

Bya Gertrude Mutyaba

Wabaluseewo obutakaanya wakati w’abatuuze n’omugagga ku kyalo Kateera mu muluka gwa Mirambi, mu gombolola ye Kibinge mu district ye Bukomansimbi.

Eno abatuuze beekumyemu ogutaaka nebasima gyebayise entaana nebasuulamu amayinja, nokussa emisanvu mu kkubo nga banenya omugagga okuziba lyabwe.

Okusinziira ku batuuze, omugagga amanyiddwa nga Kaggwa yagula ekibanja omwali kkubo, eritwala abayizi ku masomero n’abalwadde ku ddwaliro lya Mirambi health Centre 3.

Kyokka ye Omugagga abadde omukambwe ebitagambika aganye okubaako ne kyayogera.

Leave a comment

0.0/5