Skip to content Skip to footer

Omwogezi wa NRM bamukutte n’enjaga

Bya Sadat Mbogo

Police mu district y’e Mpigi ekutte abadde yeeyita omwogezi w’ekibiina kya NRM, bwebamusanze ngatunda ebokisi y’emisokoto gy’enjaga.

Okusinziira ku atwala police mu kabuga k’e Buwama, Albert Natumanya, omukwate ye Ronald Mukasa asangiddwa mu kabuga k’e Buwama mu kifo ekimanyiddwanga “Sex Workers’ Park” mu zone ya Lukadde.

Kati aggaliddwa mu kadukulu ka police ng’atereddwako n’emisango, gyokusangibwa n’enjaga, okujinywa n’okujitunda.

Leave a comment

0.0/5