Bya Fred Wambedde & Arthur Wadero
Nga ebula enaku mukaaga zokka kooti ya ssemateeka okutandika okuwulira omusango ogw’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, bo abatuuze be Mbale ewagenda okukutuula kooti ya ssemateeka bawadde endoowoza zaabwe ku kusalawo kuno.
Abamu kubatuuze bwetwogedeko nabo bagamba nti kino kigenda kutunda nyo erinya lya district yaabwe, songa abalala bagamba nti obumenyi bw’amateeka obuli e Mbale buyinza okuletera ebiwandiiko by’abanamateeka okubula.
Twogedeko ne John Baptist Nambeshe nga ono ye mubaka we Manjiya wano e Bududa n’agamba nti ekitongole ekiramuzi kyandiba nga Kyabadde n’ebigendererwa ebikusike okusindika omusango guno e Mbale.
Twogedeko n’akola ku by’amawulire mu kitongole ekiramuzi Solomon Muyita , n’agamba nti kooti ye Mbale ngazi ekimala okukola ku musango guno, ate nga tewali agenda kubataataganya.
Yye ayogerera police yeeno Suwed Manshur nagamba nti eby’okwerinda binywezu ekimala.
Guno omusango gutandikanga 9th omwezi guno era nga abalamuzi abagulimu kuliko amayuka ssabalamuzi Justice Alfonse Owiny-Dollo, Remmy Kasule, Elizabeth Musoke, Cheborion Barishaki ne Kenneth Kakuru.