Bya Abubaker Kirunda.
Mu district ye Iganga abantu basatu bafudde nga kino kidiridde ladu okubakuba nga beggamye enkuba.
Abafudde kuliko Muniru Dembere owemyaka 40 Rashid Mutebe owemyaka b27 nga kwogase ne Ronal Okware nga bonna batuuze be Bukasero mu gombolola ye Bukaatube .
Moses Kato nga ono ye ssentebe w’ekitundu kino akasizza bino bwebyabadewo, n’agamba nti walowiwo n’abalala 2 abakyali mu malwaliro..
Ono agamba nti bano okufuna emitawana baabade bewogomye nkuba ku somero elya Okudi annex primary school, awo laddu weyabasanze.