Waliwo ekibinja ky’abavubuka b’ekibiina kya NRM abeeyita ba kaada 2014 abawandiikidde pulezidenti Museveni ekiwandiiko ku neyisa y’eyali ssabaminisita we Amama Mbabazi. Bano baagala agobwe mu kibiina Abavubuka bano ekiwandiiko kino bakikwanze minisita w’abavubuka Everlyn Anite nga balumiriza Mbabazi okukuba kampeyini ng’obudde obwatekeebwawo akakiiko k’ebyokulonda tebunatuuka. Abavubuka bano era balumiriza Mbabazi okukozesa akabonero ka ngaali kebagamba nti kakyaamu, ssaako n’omubala ogugamba nti agenda mu maaso ekiraga nti tayagala kwesimbawo ku lw’ekibiina. Omuwandiisi w’ekibiina kino Juliet Nanono agamba baagala Mbabazi agobwe mu kibiina kyabwe kubanga abatabudde. Mu ngeri yeemu, Wabaddewo katemba wali ku bbaala ya Sea scallop e Kamwokya oluvanyuma lw’ebibinja by’abavubuka ba NRM 2 okuggwangana mu malaka. Ekibinja ekimu kibadde kituuzizza olukungaana lwa bannamawulire nga bavumirira ekya Mbabazi okuvaayo n’alangirira nga bw’agenda okwesimbawo ku bwapulezidenti nga ate mu kibiina kyabwe baasalawo pulezidenti Museveni yesimbewo yekka. Oluvanyuma wafubutuise ekibinja ky’abavubuka ekigamba nti kilwanirira nkola ya demokulasiya nemambalira banaabwe abatayagala Mbabazi yesimbewo olwo nelukoleera.