Bya Ruth Anderah
Ngokuwulira omusango gwokujja ekkomo ku yaka gyomukulembeze we gwanga kugenda mu maaso, waliwo abavubuka abagezezaako okutambula nga babadde bolekera ku kooti enkulu e Mbale.
Wabula bano babadde bakwataganye nebipapula nga bagamba ntibalina emidaali gya zaabu gyebabadde bagala okutwalira abalamuzi.
Bano bagambye nti balina essuubi mu balamuzi bano okukola obwenaknya.
wabula bano poliisi tebaganyizza, kutambula okutuuka.
Gwo omusango gugenda mu maaso, nga banamateeka mu musango guno basabye kooti okugoba etteeka lyonna, kubanga lyakolebwa nga lyesigama ku nsimbi zebagamba nti zabibwa mu gwanika lye gwanga.
Bwabadde awa okwewozaako kwababaka ba palamenti ku ludda oluvuganya gavumenti, Erias Lukwago agambye nti era tewali tteeka likiriza mubaka kweyongeza nsimbi zakukola kwebuuza ku bantu nga bano kyebakola, ngayagala kooti ekinonyoke nti bano ensimbi baazibba mu gwanika lya gwanga.
Kati ono agamba akageri kekiri nti bano baanyaga gwanga okuyisaawo etteeka, abalamuzi bagwana basinziira kwekyo okugoba eteeeka lino.
Ate ye munamateeka omulala James Byamukama agambye nti mu kifo kyokumalira obudde mukumenya ssemateeka nga bayisa etteeka lino, bano baalina kukola kimu kyakuzaawo kkomo ku bisanja.
Kati ono agamba nti kin kyebaakola mu mateeka kyalina kuyisibwa mu kwebuuza ku buli munna-Uganda, songa ababaka kyebaakola kwekweggalira mu mayumba nabantu abolubatu.
Kati bano olwaleero lwebakoma okulambika ensonga zaabwe, ate olwenkya noludda lwa gavumenti nga lukulembedwamu Mwesigwa Rukutana lutandike okwewozaako.
