Skip to content Skip to footer

abavuganya batabukidde gavumenti

Opposition Mps

Ababaka ba palamenti okuva ku ludda oluvuganya batabukidde gavumenti ku kubatulugunya ensangi zino

Ssabiiti ewedde poliisi yezooba n’abavuganya e Kasese, ne kabale era nga waliwo ne pulogulaamu ezagyibwa ku mpewo lwakukyaaza gen Mugisha Muntu

ABabaka okubadde Reagan Okumu, Matthias Mpuuga ne Patrick Amuriat beebuzizza lwaki poliisi ebadde eozesa eryaanyi ku bantu abaasaba n’olukusa

Wabula minista omubeezi akola ku nsonga zomunda mu ggwanga James Baba agambye nti mukama we Gen. Aronda Nyakairima ateekateeka kusisinkana bavuganya era ku nosnga yeemu

Amyuka sipiika Jacob Olanya alagidde minisita okutegeka olukiiko luno ng’olw’okuNa terunnaba kutuuka

Leave a comment

0.0/5