
Abavuganya mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga baanirizza eky’okugoba ababaka b’abavubuka , abakozi ne bannamaggye mu palamenti.
Olunaku lwajjo, abalamuzi ba kkooti y’okuntikko bataano awatali kwetemamu basazeewo nti bano tebaddamu kulondebwa kubanga amateeka agabalambika tegaliiwo
Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Wafula Oguttu agambye nti kino ssinga kyabeerawo dda naddala ku maggye kubanga tegalina gwegakiikirira okuleka okugoberera gavumenti by’esalawo.
Oguttu era agamba nti n’engeri n’abakyala gyebalondebwaamu erina okukyuka kubanga bingi birumira