
Ab’ekiwayi kya Mao bali mu ttabamiruka ab’ekiwayi ekikulemberwa loddi meeya wa Kampala Erias Lukwago bolekedde disituliki ye Luweero okukuba enkungaana gaggadde.
Abawagizi baabwe abasoba mu 100 basimbudde okuva ku ofiisi y’omubaka wa Kawempe North Latif Ssebaggala okuli loodi meeya Erias Lukwago n’omubaka Ssebuliba Mutumba ababakulembeddemu.
Ye omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi akaaksizza nga bano bwebategezezza poliisi ku nteekateeka zaabwe ez’okukuba olukungaana.