Bya Samuel Ssebulib.
Abasubuzi ba Ugandan abakolera mu gwanga lya South Sudan basabiddwa okubeera ebegenderezza kubanga obutali butebenkevu buzeemu okweyongera nadala kunguudo ezoolekera ekibuga Juba okuva e Uganda.
Kuno okulabula kugide mukadde nga abagambibwa okubeera abeyekera bakawamba abantu 2 abaali mu kimotoka ky’abasubuzi, nga bano baatwaliwabwa bwebaali bayita mu kitundu ekimanyiddwa nga Tumbura.
Twogedeko ne Byrone Kinene nga ono ye ssentebe wekibiina ekitaba abagoba ebimotoka ebinene ekya Regional Lorry Drivers and Transporters Associating n’agamba nti obutali butebenkevu bweyongedde mu gwanga lino , era nga ebitundu ebisinga biri mu mikono gyabayekera
Ono agamba nti ebitundu nga Lumbek ne Yambio byonna kakano byabulabe