Skip to content Skip to footer

Abayizi abewandiisa nebatalabikako beralikirza

Bya Ivan Senabulya ne Damalie Mukahye

Ekitongeole kyebigezo byemikono mu gwanga ekya Uganda business and technical examination board kigamba nti kigenda kulwanyisa emizze gyabaana okwewandiisa ate nebatakola bigezo.

Bwabadde ayogerako naffe, ssenkulu wekitongole kino Onesmus Oyesigye agambye nti abayizi 400 bebewandiisa okukola ebigezo byomwaka guno mu May ne June 2018 naye nebatalabikako nga kisubirwa abasing beyuna ekisaawe kyemirimu nga ssi bayigirize.

Agamba nti betaaga okunonyereza kiki ekivirako abayizi bano, obutakola bigezo.

Kati alaze okutya nti abaana abafuluma nga bayigirize, balu ku makubo batayaaya tebalina mirimu atenga gyandiba nga jitwaliba abatali bayigirize.

Mungeri yeemu bakulira amatendekero ge’bye’mikono basabye abazadde okubawa abayizi, ssi abo abagwira ddala.

Akulira ettendekero lya Baroma Vocational Training
Institute e Nabuuti e Mukono Stephen Mbuga bwabadde naba UBTEB nga balambula emirimu ejikoloebwa mu nkola ya gavumenti eyokubakwatizaako.

Agambye nti banansi balina endowooza nti amasomo ge’bye’mikono gakolebwa ba misomo gyalema wabula ekitali kituufu.

Ono agambye nti kyetagisa abaana abakwata, amangu ebibasomeswa nebasobola okukola okwebzaawo mu bulamu.

Leave a comment

0.0/5