Skip to content Skip to footer

Abazigu babbye ku wa poliisi emmundu

kigoziPoliisi ye Luweero ebakanye n’okunonyereza ku bazigu abaakubye omuserikale waabwe nebakuliita  n’emmundu ye.

 

Festo kibuuka mu kiseera kino ali mu ddwaliro ly’amagye e Bombo yeyatemeddwatemeddwa abazigu bano nebamanyuuka n’emmundu ye omwabadde amasasi 26.

 

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agamba omuserikale ono yebbye okuva ku yunivasite ye Ndejje gyeyabadde akuuma okugenda mu tawuni ye Ndejje okufuna eky’okulya abazigu gyebamusanze nebamuwumiza.

 

Ono asabye abatuuze okusigala nga bakkakamu nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.

 

Leave a comment

0.0/5