Skip to content Skip to footer

Abazigu balumbye poliisi

Mubende gun men

Poliisi eri ku muyiggo gw’abatamanya ngamba abalumbye poliisi ye Mubende nga baagala okubba emmundu.

 

Ba nkuyege tetya ssabo bano  baasose kulumba maka g’adumira poliisi n’akulira eby’okunonyereza.

 

Adumira poliisi ye Mubende  Enock Abaine agamba bawanyisiganyizza amasasi era mu kavuvungano kano tewali musirikale wa poliisi yalumiziddwa sso nga omu ku babbi bano baamusuzizza engoye .

 

Kati ebyokwerinda binywezeddwa ku kitebe kya poliisi e Mubende nga emisanvu gyitereddwa mu bitundu ebyenjawulo.

Leave a comment

0.0/5