Skip to content Skip to footer

Abaziyiza emisango e Ngora bamaze okutendekebwa

Crime preventers

Abaziyiza wamu n’okulabula  poliisi ku buzzi bw’emisango gwonna  abasoba mu 1,200 ssibasanyufu n’engeri gyebaasibiddwamu .

Okwemulugunya kuno baakukoledde ku matikira gaabwe mu disitulikiti eye Ngora.

Bano  ssibasanyufu olw’obutasasulwa nsimbi yonna oluvanyuma lw’emyezi esatu nga batendekebwa.

Yye aduumira poliisi y’e Ngora Emmanuel Mafundo abaanukudde nga eky’okubasasula bwekitaatekebwa munkola.

Mungeri yeemu omu ku baatikiddwa  Agnes Akiror agamba yali asuubira okufuna certificate wabula baabasiibuddebusiibuzi awatali kipapula kyonna.

Bano baagala baweebwe ebikozesebwa mu mulimu gwabwe nga endaga Muntu ezibogerako, ebikooti by’enkuba obugaali bumanyigakifuba, gumboots n’ebirala.

Leave a comment

0.0/5