Bya Prossy Kisakye
Abakulembeze e matugga mu gombolola ye Gombe mu district ye Wakiso bavudeyo ne bawakanya omusolo gwa property rate ogw’abagerekeddwa.
Sentebe wa lc 2 John Bosco Mugambwa ategezeza nti baatudde ng’abakakiiko ne basalawa okuwakanya omusolo gw’ amayumba ogw’abagerekeddwa mu kitundu kyabwe.
Mugambwa anyonyodde nti abavunanyizibwa kungereka y’omusolo guno batuula mu office zaabwe ne bagereka nga bwe balabye ekitundu ekitali kituufu.
Ono abasabye basookenga ku LC1 sentebe abatambuzenga mu batuuzebe olwo bagereke omusolo ogusanidde nga sentebe wa LC1 waali.