Abalimi bakasooli mu district ye Kayunga bongedde okusatira
olwobusaannyi obumulya okwongera okusasanira ebitundu bya district eno
ebitali bimu.
Obusaannyi buno bwasookera muggombolola ye Kayunga wabula nga kati
busasannidde anmagombolola amalala okuli Kayonza,Kitimbwa,Busaana ne
Nazigo ngeeno yonna buzinzeko emisili gyaKasooli gyebugenda bulyaako
amakooola nennimi.
Abalimi bano bategeezeza nti bafubye nga bwekisoboka okufuuyira
emisili gyaabwe okubuta nga bakozesa eddagala gavumenti ne minisitule
yobulimi lyebagamba okukozesa,kyokka nga ekyennyamiza nalyo
lilemeddwa okubutta.
Bano bagamba nti beelaliikilivu byansusso kunjala kakutiya eyinza
okubalumba nate,kyokka nga bafiiliddwa ensimbi nnyingi nganabamu
baazeewola mubbanka nebibiina,bwebatyo nebasaba gavumenti esitukilemu
eggye ebayambe.
