Akulira abakozi ba Gavumenti mu district ye Kayunga Ezaruku Kazimiro
aliko enkyukakyuka z’akoze mu baddukannya eddwaliro ekkulu elye
Kayunga mukawefube wokulongooosa empereza yemilimu muddwaliro lino.
Bwabadde ayanja enkyukakyuuka zino eli bannamawulire e Kayunga,
Ezaruko ategeezeza nti kino kigendeleddwamu kutumbula nkola yamiirimu
gyeddwaliro,nga munteekateeka eno abadde avunannyizibwa kunzilukannya
yemirimu muddwaliro lino Yasin Mutesaasila agyiddwa mukifo kino
nasikizibwa Naava Fatumah.
Kitegeezeddwa nti Yasin Mutesasila abadde takwatagana bulungi nakulira
eddwaliro lino Dr.Tonny Mulwaana nga kino kibadde kiviiliddeko
nabasawo beddwaliro lino okwekutulamu ebiwayi nga bulyoomu alina
gwawagira kubano,ekibadde kizigamiza empereza,nga abasawo bakola
kutuusa luwalo,nga nomuwendo gwabakyaala abafiira mussannya gubadde
gususse ogwomulamuzi.
Gyebuvuddeko katono akakiiko ka district akeebyokwelinda nga
kakulemberwa RDC Rose Birungi kaafulumiza alipoota nga elumika
abakulira eddwaliro lino okuddibaga empereza y’emirimu gy’eddwaliro.