Abasoma obusawo 206 ku ddwaliro ekkulu e Mulago nate bazzemu okwediima nga babanja ensako yaabwe ey’emyezi 3.
Mukiseera kino abalwadde basimbye enyiriri empanvu olwabasawo okubeera abatono
Bano bekalakaasa emyezi 6 egiyise lwagavumenti kusazaamu eky’okubawa ensako nga batendekebwa mu malwaliro agenjawulo .
Abasoma obusawo bano balina okufuna emitwalo 60 buli mwezi okubayamba ku by’entambula, eby’ensula n’ebyokulya.
Akulira ekibiina ekigatta abasoma obusawo mu ggwanga Dr Fauz Kavuma agamba abasawo bano baasazewo okuteeka wansi ebikola lwagavumenti kulemererwa kubasaula nga bweyali esuubizza.
Dr Kavuma agamba nti yadde nga abali mu malwaliro amalala baafunye dda ensako yaabwe, e Makerere teri kantu kale y’ensonga lwaki baasazewo owkediima.
Wiiki ewedde abasawo bano baalumiriza akulira eddwaliro lino Dr Baterana Byarugaba olw’okubefulira sso nga yali abasuubizza nti ssente zaali zakutuuka ku akawunti zaabwe ku lwokutaano lwa wiiki ewedde nga era zaali obukadde 258.
Wabula ye Dr Byarugaba Baterana agamba yewunyizza lwaki abasawo bano baamuyise amabega nebediima sso nga bakkanyizza ku nsonga z’ensako nti era essaawa yonna baakusasulwa.