
Abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere boolekedde obutatikirwa lwakukola ssomo kyamu mu lusoma lwabwe olusembawo batikirwe.
Amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Edward Ddumba agamba bano baali balina kukola ssomo ly’amaloboozi audio production wabula ate nebakolamu eryuebifananyi erya video production.
Agamba ensobi eno yalabibwa obudde bugenze kale n’basaba bagumikirize bagitereeze awatali kusasula kwonna batikirwe omwaka ogujja.
Ddumba ategezezza nga n’ababdde bemulugunya okuva mu ssomero lya social sciences bwebakoleddwako nga kati olukalala lw’abagenda okutikirwa olusembayo lwakufuluma ku nkomerero ya wiiki eno.
Abayizi abasoba mu 10,000 bebagenda okutikirwa zi dipuloma ne diguli ku matikila ge 63 agagenda okubeerawo okuva nga 19 omwezi guno.