Skip to content Skip to footer

Abe Makerere bazzeemu okwekalakaasa

muk studennts

Abayizi b’ettendekero ly’e Makerere bakwanze amyuka Kyansala w’ettendekero ly’eMakerere ekiwandiiko namutayiika nga bawakanya eky’okwongeza ensimbi z’abayizi abapya n’ebitundu 10%.

Abayizi bano nga bakulembeddwa abakulira Ivan Bwowe  ekiwandiiko bakumukwanze nga awerekeddwako omubalirizi w’ebitabo mu yunivasite eno.

Kati olukiiko olufuga ettendekero lino lusuubirwa okutunula mu kwemulugunya kw’abayizi bano ku lunaku olwokusastu okulaba eky’okubakolera.

Mungeri yeemu poliisi eky’ebulunguludde ettenderekero lyonna nga edumirwa omudumizi wa poliisi mu mambuka ga Kampala  Steven Tanuyi.

Leave a comment

0.0/5