Bya Magembe Ssabiiti
Abakwatidde ekibiina kya NRM bendera mu kulonda kwe byalo mu district ye Mubende batabukidde minister wa government ezebitundu Tom Butime olwekibiina okubamma ssente ezinonya akalulu kyoka bbo nebepokera omusimbi .
Ba ssentebe be byalo bano okuva mu mbeera kidiridde okubayita ku kitebe kya district e Mubende okuwebwa ensimbi zabwe eza buli mwaka emitwalo 12 gyebasisinkanide minister Tom Butime nebalangira government ya NRM okubawanga obusente bagamba obutalina kyebubayamba.
Minister mu kwanukula akiriziganyiza neba ssentebe ngensimbi ezibawebwa emitwalo 12 bweziri entono enyo nga gavumenti bwesanye ezongereko.