Ab’ekibiina kya NRM bafumuluzza enteekateeka zaabwe ez’okulonda abanakwata bednera y’ekibiina ku mitendera egitali zimu.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Justine Lumumba agamba nti bagenda kutandika okuwandiisa bannakibiina okuva nga 24 omwezi guno era bamalirize nga 16th omwezi gw’okutaano omwaka 2015.
Nga bano bakuyita mu lukalala lw’abalonzi okuva nga 18 omwezi ogujja era nga kino kyakuggwa nga 12 omwezi gw’omusanvu.
Ekibiina kino kyakutandika akamyufu nga 31st omwezi gw’omunaana bamalirize nga 30 September ate olwo batuuze ttabamiruka mu gw’ekkumi.
Lumumba agamba nti byonna biwedde era nga bakutandika mu kiseera ekitegekeddwa
Yye atwala akakiiko ka NRM akalondesa Tanga Odoi agamba nti bakufuba okulaba nti okulonda kutambuza mu mazima n’obwenkanya okwewala okwemulugunya okunavaamu abantu okwesimbawo ku bwannamunigina
Bbo ab’ekibiina kya FDC nabo balangiridde nti okulonda mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu okuva ku byaalo kutandika omwezi gujja
Akulira akakiiko ka FDC akalondesa Dan Mugarura agamba nti bakusookera Teso, West Nile, Rwenzori ne Bukedi era ekigendererwa kunyweeza kibiina kuva wansi
Mugarura era agambye nti okulonda kuno kwakutambulira wano n’okwa bavubuka kko n’abakyala
Wabula Mugarura agambye nti tebannasalawo ddi lwebanatuuza ttabamiruka w’ekibiina.