Skip to content Skip to footer

Afudde tannafuna mulimu

police post

Omusajja abadde agezaako okufuna omulimu mu poliisi agudde eri n’afa.

Jacob Owere wa myaka asatu ng’olwaleero abadde ku kigezo kyakudduka misinde okukakasa nti abadde yesobola

Wabula ono mu kudduka atandise okuwulira obubi era bw’atyo n’agwa wansi

Bamuyoddeyodde okumuddusa e Mulago kyokka ng’afudde yakatuuka.

Okusinziira ku mateeka ga poliisi, omuntu yenna okubegattako alina okubeera n’omubiri ogwesobola era nga buli Muntu asooka kuyita mu kasengejja k’emisinde

Omuntu okuyitawo alina kubeera wakati w’emyaka 18 n’asatu

Leave a comment

0.0/5