Skip to content Skip to footer

Agudde mu kidiba- poliisi esse omubbi

Lamcek Kigozi

Poliisi etandise kawefube w’okuyigga omulambo gw’omusajja agudde mu kidiba ky’amazzi e Kalule Luweero

Omusajja ono abadde anaaba n’asereera nagwa mu mazzi era bw’atyo n’abbira

Aduumira poliisi y’omu bitundu bya Savannah Musa Nabende agamba nti bamaze okuyita abaziinya mooto okuyambako

Amasasi ganyoose e Kasana Luweero nga poliisi yeezooba n’ababbi.

Mu kavuvungano omubbi omu attiddwa n’abalala nebalumizibwa.

Omwogezi wa poliisi erudda eno, Lameck Kigozi agamba abazigu bano basangiddwa n’akawanga  k’omuntu nga n’omu ku bakwatiddwa musawo wa kinnansi.

Leave a comment

0.0/5