Skip to content Skip to footer

Omusomesa asobezza ku mwana

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi mu Kiira North e Jinja egalidde omusomesa, agambibwa okusobya ku kawala akemyaka 13.

Omusomesa ono kitegezeddwa nti akolera ku ssomero lya Master Junior academy P/S mu gombolola ye Budondo nga poliisi yatemezeddwako maama womwana.

Omuddumizi wa poliisi mu kitundu Henry Mugarura akakasizza okukwatibwa kwomusomesa ono.

Poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso era esaawa yonna, bagenda kumutwala mu kooti.

Leave a comment

0.0/5