Bya Damalie Mukhaye
Poliisi ekakasizza nti abantu 6 bebafiridde mu kabenja, ddekabusa akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Taxi Number UAF 223/N eyambalaganye nekimotoka ekyettisi FUSO UDI 191.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu tundutndu erya Katonga, Philip Mukasa, akabenje kano kavudde ku kuvugisa kimama.
Kati taxi ebadde eva Mpigi songa Fuso ebadde eyolekera Masaka ngeva Kampala, nezegoya.
