Skip to content Skip to footer

Buganda Ennongosereza mu Tteeka Lye’Ttaka Ezigaanye

Bya Sam Ssebuliba ne Ivan Ssenabulya

Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 aliko akaama kakubye abasajja, okwetaba mu lutalo lwokulwanyisa akawuka ka mukenenya mu Buganda ne Uganda awamu.

Omutanda yeyama okubeera omubaka, wekibiina kyamawanga amagatte mu lutalo lwa siriimu.

Omuteregga abadde ayogerako eri Obuganda ku mattikira ge agomulundi ogwa 24th mu ssaza lye erye Buwekula.

Ategezezza nti abasajja olutalo lwa siriimu babadde bakyarwesambye.

Mungeri yeemu obwakabakbaka bwa Buganda buwakanyizza ennongosererza mu tteeka lye ttaka.

Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga, alabudde gavumenti ku kabi akanaava mu nnongosereza mu tteeka lye ttaka gavumenti mweyagalira okwezza ettaka lyabantu okukolerangako enkulakulana, na buwaze basasulwe oluvanyuma.

Kattikiro ategezezza nti ettaka kyabugagga kikuilu nnyo mu bwakabaka bwa Buganda, eritekeddwa okukumibwa ate nokukozesebwa obulungi.

Awabudde nti gavumenti erina okusooka okuliyirira abantu, abagaana ensimbi za gavumenti nga tebamatidde olwo gavumenti beba ewawabira.

Emikolo gino gyetabiddwako, ssbaminisitawe gwanga Dr. Ruhakana Rugunda, akulira ekikwekweto kya Wealth Creation Gen Salim Saleh, ababaka ba palamenti nabebitiibwa abalala njolo.

Wabula mu kwanukula, government esabye obwakabaka bwa Buganda, okwaniriza ennongosereza mu tteeka lye ttaka ezolekedde okukolebwa.

Ssabaminista abadde ayogerera ku mikolo gyamattikira ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, agomulundi ogwa 24th  ku mbuga e Kaweeri mu ssaza lya Buwekula.

Ategezezza nti omutima mwebaleteramu eenongosereza zino, ssi mubi kubanga kyebarubiridde kwekuletawo enkulakulana.

Tegezezza nti bababdde basanga obuzibu bungi naddala okutwala polojekiti za gavumenti.

Ssabaminista wabula agumizza Buganda nti bebamu ku bagenda okuweebwa obudde, okubebuzaako ku nnongosererza zino.

Wabula wakati mu mikolo egibadde gigenda mu maaso, wabaddewo ensasagge, abebyokwerinda bwebabadde bakwata omusajja alumbye omubaka Simeo Nsubuga okumugwa mu bulago.

Ababaka babadde bayitiddwa okweyanza mu maaso ga Kabaka, omusajja atanategeekeka gyanawuse okugwa omubaka mu bulago.

Amaloboozi gabadde gawulirwa, ngabantu bewera okugajambula omubaka Nsubuga olwokuwagira ebiwulirwa ebyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Leave a comment

0.0/5