Lord mayor wa kampala Erias Lukwago akyagenda maaso n’okwewozako maaso g’akakiiko akawulira okwemulugunya kaba kansala 17 abaagala okumujjamu obwesige.
Munamateka wabakansala bano Kiryoowa Kiwanuka alumiriza Lukwago okulemererwa okuyita enkiiko ezabulijjo neyemalira ku zeyayitanga nga alina ekigendererwa.
Agattako nti mu mateeka buli luvanyuma lwa myeezi esatu waba walina okuberawo olukungaana ekintu ekitaakolebwa mu myezi etaano.
Wabula mu kwewozako kwe, Lukwago ategezezza akakiiko nga bweyayitanga enkiiko zino wabula nga akulira ekibuga Jeniffer Musisi amulemesa.
Akakiiko kano kakumaliriza emirimu gyako olwokutano olujja oluvanyuma lw’emyeezi 2 nga katuula.
Akakiiko kano akabantu 3 kakulembeddamu omulamuzi Catherine Bamugemereire era nga kawulira okwemulugunya kwaba kansala 17 abagala okujja obwesige mu Lord Mayor Eria Lukwago abamulumiriza nti emirimu gimulemye.
.