Bya Shamimu Nateebwa, Omuwendo gwa bannauganda abakwatibwa akawuka kamukenenya buli mwaka abakugu battidemu nti gwandirinya okutuuka ku bantu emitwalo 340,000 wetunatukira mu 2025 okuva ku mitwalo 5 mwenkumi 2000 bwebaali mu 2016.
Okusinzira ku Dr Daniel Byamukama,akulira ebyokutangira akawuka ka mukenenya ku Uganda Aids Commission,akawuka akasasanya ekirwadde kya mukenenya okukalinyibwa kunfeete bingi ebyetaaga okukolebwa
Ayogerako nti wetaaga okuteeka ensimbi mu ntekateeka zigenderedde okutangira ensasaana ya kawuka
Alipoota eyakasembayo okufulumizibwa aba Uganda Aids Commission yalaga nti abantu 1000 bebakwatibwa akawuka ka mukenenya buli wiiki wano mu ggwanga