Skip to content Skip to footer

Akulira abakozi mu minisitule y’ekikula ky’abantu mwenyamivu

Akulira abakozi mu minisitule y’ekikula ky’abantu mwenyamivu olw’abakyala abeyongera okwekalakaasa nga beyambula.
Kino kiddiridde abakyala ab’enjawulo wano mu ggwanga okwegumbulira omuze okweyambula okulaga obutali bumativu bwabwe naddala ku nkaayana z’ettaka.
Jane Mpagi agamba kuno kutyobola kitiibwa ky’abakyala nga balaga emibiri gyabwe ekikyamu.
Ono olukongoolo alutadde ku bannabyabufuzi abakozesa abakyala bano okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

Leave a comment

0.0/5