Amaggye g’eggwanga olwaleero gakwataganye n’aba KCCA okusimba emiti mu kawefube atuumiddwa “Go Green” campaign,
Bano basimbye emiti 20 e Banda mu divizoni ye Nakawa, okuyoola kasasiro n’okulongoosa ebifo ebyenjawulo
Akulembeddemu bannamaggye Col John Paul Ssonko agambye nti bakusigala era bakunga abantu okutumbula obuyonjo kubanga ekibuga kya buli omu
Ssonko era agamba nti era bakwongera okuwayaamu ne KCCA ku ngeri y’okukwatamu kasasiro okuva mu bantu nebamujjamu omugaso
Bbo abatuuze be Banda zooni B basiimye aba KCCA olw’okubawa ebipipa mwebayiwa kasasiro.