Skip to content Skip to footer

Amaggye tegalina nsimbi z’abajaasi abapya

army deploys

Minisitule y;ebyokwerinda etegezezza nga bweyetaaga obuwumbi 14 okusasula emisaala gya bajaasi 3000 abakawandiikibwa gyebuvuddeko.

Akuliora abakozi mu minisitule eno  Gen. Wilson Mbadi  ategezezza ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyokwerinda nga bwebaawayo dda okusaba kwabwe  eri minisitule y’ebyensimbi  wabula tebafunanga kuddibwamu ku nsimbi ezo.

Mungeri yeemu amaggye gaagalayo obuwumbi nga 51 okusobola okuliisa amaggye.

Mbadi agamba emmere ku mmere teyayingezebwa okuva ku buwumbi 18 nga kati kubulako nga obuwumbi 32.

Leave a comment

0.0/5