Bya samuel ssebuliba.
E Rukungiri amasanyaraze gakubye abantu munaana babiri kubbo nebafiirawo
Eno enjega ebadde ku kyalo Kakihanga mu gombolola ye Buyanja , amasanyaraze bwegakubye ababade bawanika tent oluvanyuma lw’omutayimbwa okukoona ku waya yamasanyaraze.
Abaafudde kuliko Nawulira Alex ow’emyaka 52 omutuuze ku kyalo Kakinga ne Rwabwera Ambrose owe myaka 31 nga ono mutuuze Kishonga.
Elli Matte nga ono yayogeerara yeeno agamba nti mukaseera kano police egenda mu maaso nokunonyereza ku nsonga eno.
