Bya Ivan Ssenabulya
Abatwala ebyenjigiriza mu munisipaali ye Mukono bagadde amasomero g’obwananyini 8 olw’obutatukiriza bisanyizo ebisokwerwako.
Kumasomero agaggadwa kuliko Eran Pre and P/School, Kitete Christian Nursery School, Blue Light Junior School n’amalala ng’agasinga gabadde tegalina bizimbe bimala abaana mwebasomera, abasomesa obutaba na bbaluwa za buyigirizze, obutakuuma buyonjo, n’ebirala.
Omulambuzi w’amassomero mu munisipaali ye Mukono Olivia Bulya agambye nti amasomero agagaddwa baali bagalabula dda nayenga abakulu baago besisiggiriza.