Bya Malikh Fahad
Poliisi ye Bukomansimbi eriko abantu 28 begombyemu obwala mu kikwekweto ekikoleddwa mu kiro okwetoola district.
Ekikwekweto kibadde mu magombolola okuli Bigasa ne Kitanda, oluvanyuma lwokwemulugunya okuva mu batuuze ku bumenyi bwmaateeka obweyongedde.
Abataka bagamba nti abavubuka bangi bamala obudde mu zzaala ekyandiba nti kyekibavirako okwenyigira mu kumenya amateeka.
Ouddumizi wa poliisi mu district ye Bukomansimbi, Charles Isabirye, akaksizza okukwatibwa kwabantu bano, ngagamba nti abasing basangiddwa nebiragalalagala.
