Skip to content Skip to footer

Amawanga gakyagaanye okusasula obweyamu

Bya Benjamin Jumbe

Kyankizo nnyo okunoonya ensibuko yensimbi okuvujiririra emirimu gyomukago.

Kino kyekimu ku biri ku mwanjo lukungaana lwabakulembeze ba East African Community olwe 19th olujibwako akawuuwo mu Kampala.

Wabaddewo okusomozebwa okwamanyi okussa mu nkola ebyo ebikanyiziddwako ngomukago.

Omumyuka wa sbabawandiisi womukago Jesca Eriyo atubuliidde nti amawanga agamu nokutuusa kati gakyalemererddwa okuwaayo ensimbi ezobweyamu bwazo ng aba memba.

Agamba batekeddwa okutakula emitwe, okuyiiya enkola endala ezinavaavu ensimbi.

Anokoddeyo ekiteeso okubinika omusolo ku buli byamaguzi ebiyingira mu ttundutundu eryomukago.

Ebiralala ebigenda okunulirwa zendagaano naba European Union wa webatuuse nensonga endala.

Olukungaana lugenda kuvugira ku mubala “okunyweza enkulakulana esimbe emirandira mu bwegassi obwawamu

Leave a comment

0.0/5