Gavumenti ya Amerika ezzeemu okweyama okukwatagana ne Uganda mu kulwanyisa obutujju
Mu bubaka bw’eggwanga lino obw’okusaasira olw’okuttibwa kw’amyuka ssabawaabi Joan Kagezi, gavumenti ya America egambye nti tekkiririza mu bikolwa bya mivuyo kubanga bya kititiizi n’asaba abantu bonna okuvaayo okulwanyisa obutujju.
Gavumenti ya Amerika era etuusizza okusaasira kwaayo eri abaana, ab’enganda n’emikwano gya Kagezi
Bano bagamba nti Kagezi ajja kujjukirwa ng’omukyala omuvumu eyalwanirira emirembe n’obutebenkevu mu ggwanga lye
Kkyo ekibiina ekigatta abawolereza gavumenti nakyo kivuddeyo ku kufa kwa memba waakyo nga kisabye wabeewo obukuumi eri bannakibiina abakola ku misango eminene ng’obuzigu, obutujju, okulya mu nsi olukwe n’emirala
Amyuka akulira ekibiina kino David Bakibinga agambye nti bannamateeka basaanye okufuna abakuumi ate ng’abatonotono abatakola ku misango minene beetaga okubeera n’emmundu
Yye eyali akulira ekitongole ekikessi ekya gavumenti Gen David Ssejusa agamba nti ettemu erigenda mu maaso mu ggwanga kabonero akalaga nti abantu bekyaaye
Ssejusa agambye nti abantu batuuliddwa tebalina webayita kwogera nga kati bazze mu bikolwa bya mivuyo
Ssejusa agamba nti eggwanga lyetaagamu abakulembeze abapya ebintu bwebiba byakutereera
Ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti efulumizza enteekateeka z’okuziika abadde amyuka ssabawaabi Joan Kagezi
Omwogezi wa ofiisi eno, Jane Kajuga agambye nti wajja kubaawo olumbe mu maka g’omugenzi e Kiwaatule
Ku lw’okuna omugenzi wakusabirwa kkanisa ya St Luke Church Ntinda ku ssaawa nnya.
Omugenzi oluvanyuma anaazikibwa ku ssaawa kkumi ku kyaalo Bukasa Buloba ku luguudo lwe Mityana