Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Gen Aronda Nyakairima atadde ab’ekitongole ky’ebyamakomera ku ninga banonyereza ku bigambibwa nti waliwo abasibe abakozesebwa nga abaddu.
Kino kiddiridde abantu abatali bamu okwemulugunya nti abasibe abamu bakakibwa okulima mu nimiro z’abantu awatali kusasulwa nnusu yonna.
Aronda agamba ensonga eno esaana okunonyerezebwako kubanga kyonoona erinya ly’ekitongole nga era kityobola eddembe lyobuntu.
Kino kizze wakayita olunaku lumu lwokka nga akakiiko k’eddembe ly’obuntu kyakajje kalangirire nga okutulugunya bwekuli ejimu ku misango egikulembedde mu kulinyirira eddembe lyobuntu.