Akakiiko k’eby’okulonda kalabudde abagenda okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo omwaka ogujja okukomya okukuba kampeyini nga tebanawebwa lukusa.
Kamissiona w’akakiiko kano mu bukiika ddyo bw’eggwanga Jenny Okello ategezezza nga okunonya akalulu bwekulina ekiseera kyakwo nga kakuyege mu kiseera kino amenya mateeka.
Ategezezza nga bwebawadde dda poliisi mu bitundu ebyenjawulo ebiragiro okukwata abo bonna abaatandise okunonya akalulu.
Okello agamba abamu baatandise nadda okukubisa ebipande byabwe n’okuteeka ssente mu bintu ebyenjawulo nga tebanategeera nakutegeera oba banayita mu kakumunta k’okusunsulibwa.
Kino wekigyidde nga bannabyabufuzi abasinga baatandise dda okunonya akalulu.