
Omuvubuka abadde yeyita Jeff Kiwa maneja w’abayimbi nga asuubiza abantu okubayingiza mu kibiina kyeizikiza ekya illuminati bafune obugagga akwatiddwa.
Moses katende nga mutuuze ku kyalo kijabijjo e Gayaza akukunuddwa Galiraya mu disitulikiti ye kayunga gy’abadde yekukumye.
omuvubuka ono nga wamyaka 18 n’akkiriza nti yeyali n’emabega w’okusendasenda omuvubuka Were okusalako mutoowe ow’emyaka 8 nti akole nga saddaaka eri ba illuminati ayoole ensimbi ezilinga obugulu bw’egongolo.
Poliisi yali yakwata Jeff Kiwa omutuufu nga bamutebereza okubeera emabega w’ensonga eno.
Kati omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba basobodde okulondoola essimu omuvubuka ono z’abadde akuba nebamukwata nga era abadde akozesa n’erinya lya Jeff Kiwa ku mukutu gya yintaneti muyungabantu ogwa facebook.
Katende ono akkirizza nti azze aggye ssente nyingi ku Were nga amusuubiza okuyunga ku ba illuminati era mu kwagala okumwegyako kwekusalawo amutume omutwe gwamutowe nga amannyi tasobola kukikola sso nga Were ye yakoowa dda obwavu era n’asalako mutowe omutwe ba illuminati bamukkirize okubegattako.
Omuvubuka ono agasseko nti y’akozesa erinya lya Jeff Kiwa kubanga baali bamusibako dda eky’okutta muto wa Chameleone AK 47 kali nga kyali kyangu okumatiza abantu nti ddala Jeff Kiwa yeyatuma Were omutwe.
Ono wakugulwako gwabutemu.