
Kyaddaaki Erias Lukwago alayiziddwa ku bwa loodi meeya bw’ekibuga Kampala.
Lukwago alayiziddwa wakati mu mizira okuva erio namunji w’omuntu azze amuwerekera okuva ewuwe e Wakaligan’ababadde bamulindidde ku City hall.
Bannabyabufuzi abenjawulo bawerekeddeko Lukwago wakati mu kusaakanya nti omuloodi waali.
Bakansala ba KCCA bebasoose okulayizibwa olwo omuloodi naye n’akuba ebirayiro.
Wabula kuluno akulira abakozi Jeniffer Musisi tayambazza Lukwago ganduula yabwa loodi meeya nga bwegwali mu kulayira okwaggwa.
Nga yaakamala okulayira yegatiddwako omuyimbi Red Banton nga bwakoloobya oluyimba nti omuloodi siwakuva mu Kampala.