
Entiisa ebutikidde abatuuze ku muluka gwe Ogul mu disitulikiti ye Gulu maama bw’atemyeko mutabaniwe ow’emwaka ogumu omutwe omulambo n’agusuula mu kabuyonjo.
Betty Acan omusomesa ku ssomero lya Ogul Primary school kigambibwa nti y’akutte ejambiya n’atemako mutabaniwe Joshua Kipa omutwe mu nimiro.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa Jimmy Patrick Okema akakasizza ettemu lino n’ategeeza nga poliisi bw’ekutte omukazi ono nga era kati ali mu kadukulu.
Okema agamba poliisi y’abazinya mooto yayanguye okutuuka ewabadde ettemu lino nebanyulula omulambo mu kabuyonjo negutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Gulu.