
Abakazi babiri batwaliddwa e Luzira bamaleyo ennaku 55 lwa kuyomba n’abasirikale ba KCCA.
Fatuma Namutebi ne Aisha Namukasa nga bombi basibi ba nviiri ku Luwum Street mu Kampala basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Moses Nabende ku City Hall era n’abasindika e Luzira oluvanyuma lw’okubasomera omusango nebagukkiriza.
Omulamuzi abalabudde era n’ategeeza nti kino kakibe eky’okulabirako eri abakyala abalala abasiba enviiri abamanyiira okuvuma abantu.
Bano bakwatibwa nga 16th July omwaka guno ku Luwum street wano mu Kampala.
Kigambibwa nti bano ababiri nebanaabwe abalala abatanakwatibwa beeyisa mu ngeri etasaana nga bavuma aba KCCA abali bakola emirimu gyabwe.