
Kizuuliddwa nti kizibu ddala omuntu okusala obuzito ssinga amala okugejjulukuka naddala eri abasajja.
Ku basajja 210 abagenze mu gym mu mwaka gumu omu yekka y’akozze ate nga ku bakyala 124 ababadde bagenda mu gym omu yekka y’akozze
Abakoze okunonyereza bategeezezza nti bafubye okukebera amakubo gonna agayinza okuyamba omuntu okukogga naye nga byonna ssi byangu.
Abakoze okunonyereza beeba Kings College e London
Kati bano bamalirizza nga bagamba nti ekirina okussibwaako essira kwekukuutira abantu okulaba nti tebagejja kisusse.