Skip to content Skip to footer

Lukwago ayambalidde Mao- Ekibiina kyaffe

File Photo: Aba Democratic Party
File Photo: Aba Democratic Party

Ekiri mu kibiina kya Democratic Party kissa kinegula nga olwaleero waliwo abatudde nebawera obutakkirizza ttabamiruka ateekebwateekebwa ku lw’okuna.

Ekibinja kino ekikulembeddwaamu loodimeeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago bawadde Norbert Mao okutuuka lw’enkya ng’ayongezezzaayo ttabamiruka ono.

Bano balangiridde nti ssinga kino kigaana, bakulangirira mu butongole Lukwago ku bwa ssenkaggale bw’ekibiina kya DP.

Ekiwayi kino ng’okusingira ddala kirimu babaka ba palamenti  wamu n’abakulembeze ba DP okuva mu Buganda, batuuzizza olukiiko olwetabiddwaamu abantu abasoba mu 300 nga lutudde ku Bativa Hotel e Wandegeya

 

Bw’abadde ayogerako eri abakulembeze bano Lukwago agambye nti ekibiina kya DP wekiri kati kikabya amaziga, kale ng’abakulembeze balina okusitukiramu okukitaasa.

Lukwago agambye nti abamu ku bakulembeze ba DP, bagufudde muze okutunda ekibiina eri ekibiina kya NRM.

Emabegako awo, ssenkaggale wa DP, Norbert Mao yategeeza nti bano bali mu katemba n’asaba Lukwago okusooka okununula entebe y’obwa loodimeeya.

Leave a comment

0.0/5