Skip to content Skip to footer

Babiri bafiiridde mu kabenje

accidnet masaka

Abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku luguudo oluva e masaka ku kyalo Villa.

Omusajja abadde avuga pikipiki nga aweese abantu 3 bakooneddwa baasi ya kampuni ya global namba  UAT 771P ebadde eva e Mbarara okudda e Kampala.

Akulira poliisi y’ebidduka e Masaka  James Tebaijuka agamba abagenzi tebategerekese mmanya wabula nga poliisi ekutte dereeva wa baasi eno  Umar Matovu nga okunonyereza bwekukyagenda maaso.

Leave a comment

0.0/5