Okuvaako e Lwengo ku kyalo Kyamukama abatuuze baguddemu entiisa bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga gugangalamye ku mabbali w’oluguudo.
Omugenzi ategerekese nga Joseph Muzuni.
Ssentebe bw’ekyalo kino Kudura Ndyanabo, agamba Muzuni yakoma okulabibwako ku sande ku mbaga emu ku kyalo.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkone bw’eggwanga Noah Sserunjogi ategezezza nga emirambo gy’abagenzi bwegitwaliddwa mu ddwaliro okwongera okunonyereza ekyaviriddeko omugenzi okufa.